1 Samuel 20:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'alayira nti: “Kitaawo amanyidde ddala nti ndi muganzi mu maaso go; kyava agamba nti: ‘Kino Yonatani taakimanyeeko, aleme kunakuwala.’ Mazima Omukama nga mulamu, naawe ggwe ng'oli mulamu, okufa sikuli wala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Dawudi n’amulayirira ng’ayogera nti, “Kitaawo akimanyi bulungi nti onjagala, era alowooza mu mutima gwe nti, ‘Yonasaani tateekwa kumanya nsonga eyo, kubanga ajja kunakuwala.’ Mukama nga bw’ali omulamu, era naawe ng’oli mujulirwa, ndi wakati mu kufa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'alayira n'agamba nti, “Kitaawo amanyi bulungi ng'onjagala, kyavudde asalawo obutakumanyisa kino ng'agamba nti, ‘Yonasaani kino takimanye, aleme okunakuwala.’ Naye mazima, nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, wakati wange n'okufa wasigadde kata buta.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'alayira, n'agamba nti: “Kitaawo amanyi bulungi ng'onjagala, kyavudde asalawo obutakumanyisa kino ng'agamba nti: ‘Yonataani kino takimanya, aleme okunakuwala.’ Naye mazima, nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, nsigazzaayo akabanga katono nfe!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'okulayira Dawudi n'alayira n'ayogera nti Kitaawo amanyidde ddala nga bwe ŋŋanze mu maaso go; n'ayogera nti Yonasaani tamanyanga kino, aleme okunakuwala: naye mazima nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, wakati wange n'okufa wasigadde kata buta.