1 Samuel 20:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusungu bwa Sawulo ne bweserera ku Yonatani, n'amugamba nti: “Ggwe omwana w'omukazi omugwagwa, omujeemu! Olowooza nti simanyi ng'osemba mutabani wa Yesse, ekintu ekikuswaza ne kiswaza n'enda ya nnyoko?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo n’annyiigira nnyo Yonasaani, n’amugamba nti, “Ggwe omwana w’omukazi omukyamu era omujeemu! Olowooza sikimanyi nga weekobaana ne mutabani wa Yese okweleetako okuswala, n’okukwasa maama wo eyakuzaala ensonyi?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo n'asunguwalira Yonasaani n'amugamba nti, “Ggwe omwana w'omukazi omukakanyavu omujeemu, ggwe olowooza simanyi ng'oli ku ludda lwa mutabani wa Yese okweswaza era n'okukwasa nnyoko ensonyi?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'asunguwalira Yonataani n'amugamba nti: “Ggwe omwana w'omukazi omubambaavu era omujeemu. Olowooza simanyi ng'oli ku ludda lwa mutabani wa Yesse, okweswaza era n'okukwasa nnyoko ensonyi?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo obusungu ne bukwata Sawulo eri Yonasaani n'amugamba nti Ggwe omwana w'omukazi omukakanyavu omujeemu, simanyi nga walonda mutabani wa Yese okwekwasa ensonyi, n'okukwasa ensonyi obwereere bwa nnyoko?