1 Samuel 20:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennaku zonna nga mutabani wa Yesse akyali ku nsi, togenda kukkalira, wadde obwakabaka bwo okutebenkera; awo nno mutumye mangu, omundeetere, kubanga agwanidde kufa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mutabani wa Yese ng’akyali mulamu ku nsi, tolinywezebwa ggwe newaakubadde obwakabaka bwo. Kaakano mutumye omundeetere, kubanga ateekwa okufa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Manya nti mutabani wa Yese ng'akyali mulamu ku nsi, tolibaako w'onyweredde ggwe, wadde obwakabaka bwo. Kale kaakano mutumye omundeetere, kubanga ateekwa okufa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Manya nti mutabani wa Yesse ng'akyali mulamu ku nsi, tolibaako w'onyweredde ggwe, wadde obwakabaka bwo. Kale kaakano mutumye omundeetere, kubanga ateekwa okufa!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba mutabani wa Yese ng'akyali mulamu ku ttaka, tolinywezebwa ggwe newakubadde obwakabaka bwo. Kale nno kaakano tuma omunkimire, kubanga taaleme kufa.