1 Samuel 20:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yonatani n'asituka ku mmeeza nga n'obusungu bumwesera. Ku lunaku olwaddirira olw'omwezi teyalya mmere; yali munakuwavu nnyo olwa Dawudi, n'olw'okubeera nga kitaawe yali amuswazizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yonasaani n’asituka ku mmeeza mu busungu obungi, era n’atalya mmere ku lunaku olwokubiri olw’omwezi, kubanga yanakuwalira ekikolwa kya kitaawe eky’obuswavu eri Dawudi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yonasaani n'asituka ku mmeeza nga asunguwadde nnyo n'atalya ku mmere ku lunaku olw'okuboneka kw'omwezi kubanga yanakuwala olwa kitaawe okuwemukira Dawudi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enkeera w'olunaku olw'okuboneka kw'Omwezi, Yonataani n'asituka ku mmeeza n'obusungu bungi, n'atalya ku mmere n'akatono, kubanga yanakuwala nnyo olwa Dawudi, kubanga Sawulo kitaawe yali amuwemukidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yonasaani. n'agolokoka ku mmeeza ng'aliko ekiruyi kingi, n'atalya ku mmere yonna ku lunaku olw'okubiri olw'omwezi: kubanga yanakuwala olwa Dawudi, kubanga kitaawe yali amuwemukidde.