1 Samuel 20:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba akalenzi nti: “Dduka ondeetere obusaale bwe ndasa.” Akalenzi bwe kadduka, n'alasa akasaale ne kakasukka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’akagamba nti, “Dduka onoonye obusaale bwe nnaalasa.” Akalenzi bwe kaali nga kadduka, Yonasaani n’alasa akasaale mu maaso gaako ne kamusookayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba omulenzi we nti, “Dduka onoonye obusaale bwe ndasa.” Omulenzi ng'adduka n'alasa akasaale ne kasukka omulenzi ne kaggwa mu maaso ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba mulenzi we nti: “Dduka onoonye obusaale bwe ndasa.” Omulenzi n'adduka, Yonataani n'alasa akasaale, ne kasukka omulenzi, ne kagwa eri mu maaso.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba omulenzi we nti Dduka onoonye nno obusaale bwe ndasa. Omulenzi ng'adduka n'alasa akasaale ku luuyi olw'omu maaso ge.