1 Samuel 20:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yonatani n'ayongera okulaamiriza akalenzi nti: “Yanguwa, dduka, toyimirira.” Akalenzi ne kalondawo obusaale bwa Yonatani ne kadda eri mukama waako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akangula ku ddoboozi, n’amugamba nti, “Yanguwa, genda mangu, tolwawo.” Akalenzi ne kakima akasaale, ne kakomawo eri mukama waako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yonasaani n'akoowoola omulenzi nti, “Dduka, yanguwa, tolwawo.” Omulenzi wa Yonasaani n'alonda obusaale, n'akomawo eri mukama we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yanguwa, dduka, tolwawo!” Omulenzi wa Yonataani n'alonda akasaale n'addayo ewa mukama we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yonasaani n'akoowoola omulenzi nti Dduka, yanguwa, tolwawo. Omulenzi wa Yonasaani n'alonda obusaale, n'ajja eri mukama we.