1 Samuel 20:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akalenzi bwe kaamala okugenda, Dawudi n'avaayo mu maserengeta g'ejjinja, n'agwa wansi ku maaso ge ku ttaka, n'avunnamira Yonatani emirundi esatu; ne banywegeragana, bombi ne bakaaba, naye Dawudi ye yasinga okukaaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akalenzi bwe kaamala okugenda, Dawudi n’avaayo mu kifo eky’obukiikaddyo, n’agwa wansi mu maaso ga Yonasaani n’amuvuunamira emirundi esatu. Ne bagwaŋŋana mu bifuba ne bakaaba, naye Dawudi ye yasinga okukaaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omulenzi ng'agenze Dawudi n'ava mu kifo ekyali ku luuyi olw'obukiikaddyo, n'avuunama amaaso ge ku ttaka, n'akutama emirundi esatu (3) ne banywegeragana bombi ne bakaaba nnyo amaziga, naye Dawudi yasingako okukaaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulenzi bwe yamala okugenda, Dawudi n'ava mu kifo ekyali ku ludda olw'ebukiikaddyo, n'avuunama, n'akutama ku ttaka emirundi esatu, ne banywegeragana nga bwe bakaaba, kyokka Dawudi ye yasinga okukaaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omulenzi ng'agenze Dawudi n'agolokoka mu kifo ekyali ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, n'avuunama amaaso ge n'akutama emirundi esatu: ne banywegeragana ne bakaaba bokka na bokka okutuusa Dawudi lwe yayingiriza,