1 Samuel 20:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yonatani n'agamba Dawudi nti: “Genda mu ddembe; anti ffenna twalayira mu linnya ly'Omukama okuba ab'omukwano, ne tugamba nti: ‘Omukama ye mujulirwa wakati wange naawe, wakati w'ezzadde lyange n'ezzadde lyo emirembe gyonna.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yonasaani n’agamba Dawudi nti, “Genda mirembe, kubanga fembi twelayirira omukwano mu linnya lya Mukama nga twogera nti, ‘ Mukama ye mujulirwa wakati wo nange, ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde lyange emirembe gyonna.’ ” Dawudi n’agenda, ne Yonasaani n’addayo mu kibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yonasaani n'agamba Dawudi nti, “Genda mirembe kubanga tulayidde ffembi mu linnya lya Mukama nga twogera nti, ‘Mukama anaabanga wakati wange naawe era wakati w'ezzadde lyange n'ezzadde lyo, ennaku zonna.’ ” Dawudi n'asituka n'agenda ne Yonasaani n'addayo mu kibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yonataani n'agamba Dawudi nti: “Genda mirembe. Ffembi tusigale nga bwe tulayidde mu linnya lya Mukama, nga tugamba nti: ‘Mukama anaabeeranga wakati wange naawe, era wakati w'ezzadde lyange n'eriryo ennaku zonna.’ ” Awo Dawudi n'asituka n'agenda, Yonataani n'addayo mu kibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yonasaani n'agamba Dawudi nti Genda mirembe kubanga tulayidde fembi mu linnya lya Mukama nga twogera nti Mukama anaabanga wakati wange naawe era wakati w'ezzadde lyange n'ezzadde lyo, ennaku zonna. N'agolokoka n'agenda: Yonasaani n'ayingira mu kibuga.