1 Samuel 20:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba Yonatani nti: “Laba, enkya y'embaga y'Okuboneka kw'Omwezi. Ku olwo ntera okutuula ne kabaka ku lujjuliro; leka neekweke ku ttale okutuusa akawungeezi k'oluddirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’agamba Yonasaani nti, “Enkya mbaga ey’okujuukirirako omwezi nga gubonese era nsubirwa okuliira awamu ne kabaka, naye nzikiriza ŋŋende ne kweke mu nnimiro okutuusa ku lunaku olwokusatu akawungeezi nga wayiseewo ennaku bbiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'agamba Yonasaani nti, “Laba, enkya omwezi gunaaboneka, nange ssaliremye kutuula ne kabaka ng'alya; naye ka ŋŋende nneekweke mu nsiko okutuusa ku lunaku olwokusatu akawungeezi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agamba Yonataani nti: “Enkya luulwo lunaku lwa Kuboneka kwa Mwezi, era nandibadde nteekwa okutuula ne kabaka okulya, naye ndeka ŋŋende nneekweke mu ttale okutuusa akawungeezi k'olunaku oluddirira olwenkya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'agamba Yonasaani nti Laba, enkya omwezi gunaaboneka, nange sandiremye kutuula ne kabaka ng'alya: naye ka ŋŋende neekweke mu nsiko okutuusa ku lunaku olw'okusatu akawungeezi.