1 Samuel 20:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kitaawo bw'aba anneebuuza, omunnyonnyola nti: ‘Dawudi yansabye agende bunnambiro e Beteleemu mu kibuga kye, kubanga ab'ekika kye bonna balinayo ekitambiro ekya buli mwaka.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kitaawo bw’anambuuza, mugambe nti, ‘Dawudi yansabye, agende e Besirekemu, mu kibuga kye waabwe, kubanga waliwo ssaddaaka eya buli mwaka eneeweebwayo ku lw’ennyumba ye yonna.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'agamba Yonasaani nti, “Kitaawo bw'anaambuuza, onoomugamba nti, ‘Dawudi yansabye nga anneegayirira nnyo muleke agende e Besirekemu mu kibuga ky'ewaabwe kubanga eriyo ssaddaaka eya buli mwaka ey'ennyumba ye yonna.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kitaawo bw'anaalaba nga siriiwo, ng'omugamba nti: ‘Dawudi yanneegayiridde mmuleke agende e Betilehemu mu kibuga ky'ewaabwe, kubanga ab'ennyumba ya kitaawe bonna, bagenda kuwaayo ekitambiro kye bawaayo buli mwaka.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kitaawo bw'anambuuza, n'olyoka oyogera nti Dawudi andaze n'anneegayirira nnyo leero agende mangu e Besirekemu ekyalo kye: kubanga ssaddaaka gy'eri eya buli mwaka ey'ennyumba ye yonna.