1 Samuel 20:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'anaagamba nti: ‘Kirungi,’ olwo omuweereza wo ali mirembe; naye bw'anaasunguwala, olwo onoomanya nti amaliridde okunkola akabi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’anaakuddamu nti, ‘Kirungi,’ olwo nno omuweereza wo anaaba mirembe. Naye bw’anaanyiiga, kale onootegeera nti amaliridde okunkola akabi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bw'anaayogera nti, ‘Kirungi’ omuddu wo anaaba mirembe naye bw'anaasunguwala, onoomanya nga alina akabi kantegekedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bw'agamba nti: ‘Kirungi,’ olwo nze omuweereza wo nnaaba mirembe. Naye bw'anaasunguwala, ng'omanya ng'alina akabi k'ategese okukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bw'anaayogera nti Bulungi; omuddu wo anaaba n'emirembe: naye bw'anaasunguwala, kale tegeera ng'ateesezza kabi.