1 Samuel 20:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe nno omuweereza wo mugirire ekisa, kubanga wamukozesa endagaano naawe mu maaso g'Omukama; oba nninawo ekitatuuse, ggwe nzita. Lwaki wandimpaddeyo ewa kitaawo?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo beera wa kisa eri omuweereza wo, kubanga wakola endagaano n’omuweereza wo mu maaso ga Mukama. Naye oba nnina omusango, gw’oba onzita. Lwaki ompaayo eri kitaawo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nze omuddu wo nkwatirwa ekisa kubanga twakola endagaano naawe mu maaso ga Mukama; naye oba nga waliwo obutali butuukirivu mu nze, ggwe wennyini nzita kubanga tewali nsonga ekuntwazisa eri kitaawo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nze omuweereza wo nkwatirwa ekisa, kubanga twatta omukago mu maaso ga Mukama. Naye bwe mba omubi, ggwe wennyini nzita, kubanga tewali nsonga ekuntwazisa eri kitaawo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kola omuddu wo obulungi: kubanga wayingiza omuddu wo mu ndagaano ya Mukama naawe: naye oba ng'obutali butuukirivu buli mu nze, nzita wekka; kubanga wandindeetedde ki eri kitaawo?