1 Samuel 21:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'asituka n'agenda; ne Yonatani n'addayo mu kibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’agenda e Nobu eri Akimereki kabona. Akimereki n’ajja ng’akankana okusisinkana Dawudi, n’amubuuza nti, “Lwaki oli wekka? Tewali muntu mulala ali wamu naawe?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'atuuka e Nobu eri Akimereki kabona; Akimereki ng'akankana n'ajja okusisinkana Dawudi, n'amubuuza nti, “Lwaki oli wekka, nga toliiko muntu mulala?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'atuuka e Nobu ewa Ahimeleki kabona. Ahimeleki n'ajja okusisinkana Dawudi ng'akankana, n'amubuuza nti: “Lwaki oli wekka, nga toliiko muntu mulala?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'atuuka e Nobu eri Akimereki kabona: Akimereki n'ajja okusisinkana Dawudi ng'akankana n'amugamba nti Obeeredde ki omu, so tewali muntu naawe?