1 Samuel 21:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi bw'atyo n'asituka, n'adduka Sawulo ku olwo, n'ajja ewa Akisi kabaka w'e Gati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abaweereza ba Akisi ne bamugamba nti, “Oyo si ye Dawudi kabaka w’ensi? Si gwe bayimbako nga bazina, nga boogera nti, “ ‘Sawulo asse enkumi ze ne Dawudi emitwalo gye?’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaddu ba Akisi ne bamugamba nti, “Dawudi oyo si ye kabaka w'ensi? Si ye ono gwe bayimbanga nga bwe bazina nga bagamba nti,” “ ‘Sawulo asse enkumi ze, Ne Dawudi asse emitwalo gye.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaweereza ba Akisi ne bamugamba nti: “Ono si ye Dawudi kabaka w'ensi ye? Si y'ono gwe bayimba nga bwe bazina, nga bagamba nti: ‘Sawulo asse enkumi ze naye Dawudi, mitwalo gy'asse!’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaddu ba Akisi ne bamugamba nti Dawudi oyo si ye kabaka w'ensi? tebaayimbiragana ku ye nga bazina, nga boogera nti Sawulo asse enkumi ze, Ne Dawudi obukumi bwe?