1 Samuel 21:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaweereza ba Akisi ne bamugamba nti: “Ono si ye Dawudi kabaka w'ensi? Si y'ono gwe baali bayimba nga bazina nga bagamba nti: “ ‘Sawulo asse enkumi ze, ne Dawudi obukumi bwe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’akuuma ebigambo ebyo mu mutima gwe, era n’atya nnyo Akisi kabaka w’e Gaasi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi ne yeeraliikirira olw'ebigambo ebyo, n'atya nnyo Akisi, kabaka w'e Gaasi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi ne yeeraliikirira olw'ebigambo ebyo, n'atya nnyo Akisi, kabaka w'e Gaati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'atereka ebigambo ebyo mu mutima gwe, n'atya nnyo Akisi kabaka w'e Gaasi.