1 Samuel 21:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi ebigambo ebyo n'abissa mu mutima gwe, n'atya nnyo Akisi, kabaka w'e Gati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyeyava yeefuula omulalu mu maaso gaabwe, n’aba ng’agudde eddalu, n’awandiika ebitategeerekeka ku wankaaki, nga bw’akulukusa amalusu ku birevu bye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'awaanyisa empisa ze mu maaso gaabwe, ne yeeralusalalusa mu mikono gyabwe, n'ayagulayagula ku nzigi eza wankaaki, n'akulukusa amalusu mu birevu bye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne yeefuula mu maaso gaabwe, ne yeegwisa eddalu nga bamukutte, n'atakulatakula ku nzigi za wankaaki w'olubiri, n'akulukusa endusu mu kirevu kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'awaanyisa empisa ze mu maaso gaabwe, ne yeeralusalalusa mu mikono gyabwe, n’ayagulayagula ku nzigi eza wankaaki, n'akulukusa amalusu mu birevu bye.