1 Samuel 21:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akisi n'agamba abaweereza be nti: “Mulabe, omuntu mulalu. Lwaki mumundeetedde?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mbuliddwa abalalu, n’okuleeta ne mundeetera omusajja ono okukola ebifaanana bwe biti mu maaso gange? Omusajja ono asaana okuggya mu nnyumba yange?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mbuliddwa abalalu, n'okuleeta ne muleeta olusajja luno okulalukira mu maaso gange? Olusajja luno lunaayingira mu nnyumba yange?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulowooza mbuliddwa abalalu, mulyoke mundeetere ekisajja kino, okulalukira mu maaso gange? Ekisajja kino kijje kiyingire mu nnyumba yange?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mbuliddwa abalalu n'okuleeta ne muleeta olusajja luno okulalukira mu maaso gange? olusajja luno lunaayingira mu nnyumba yange?