1 Samuel 21:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agenda e Nobu ewa Akimeleki kabona; Akimeleki n'akankana bwe yasisinkana Dawudi, n'amugamba nti: “Lwaki oli bw'omu, tewali n'omu ali naawe?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’addamu Akimereki kabona nti, “Kabaka alina ensonga gye yantumye, n’aŋŋamba nti, ‘Tewaba n’omu amanya ku nsonga eno, era n’ebiragiro bye nkuwadde.’ Abasajja bange mbagambye we banansisinkana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'addamu Akimereki kabona nti, “Kabaka yantuma omulimu n'aŋŋamba nti, ‘Tewaba muntu anaamanya ekigambo kyonna eky'omulimu gwe nkutuma newakubadde bye nkulagidde;’ abalenzi bange mbalagidde tubeeko wetusisinkana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agamba Ahimeleki kabona nti: “Kabaka alina ky'antumye okukola, era n'aŋŋamba nti: ‘Tobaako muntu n'omu gw'omanyisa ku kye nkutuma, wadde kye nkulagidde.’ Basajja bange nnina we mbalagidde basisinkane.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agamba Akimereki kabona nti Kabaka yantuma omulimu n'aŋŋamba ati Tewaba muntu anaamanya ekigambo kyonna eky'omulimu gwe nkutuma newakubadde bye nkulagidde: era n'abalagira abalenzi egindi n'egindi.