1 Samuel 21:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno oba olinawo emigaati etaano, gimpe, oba kyonna ky'onooba osanze.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona n’addamu Dawudi nti, “Sirinaawo migaati gya bulijjo okuggyako emigaati egyatukuzibwa, wabula nga abasajja bo beetukuza era nga beekuumye obuteetaba na bakazi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabona n'addamu Dawudi nti, “Sirinawo migaati egya bulijjo okuggyako emigaati emitukuvu, abalenzi bo bwe baba nga beekuumye obuteegatta na bakazi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona n'addamu Dawudi nti: “Sirinaawo migaati gya bulijjo, emigaati emitukuvu gye giriwo, abalenzi bwe baba nga beekuumye obuteegatta na bakazi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabona n'addamu Dawudi n'ayogera nti Tewali mugaati bugaati wansi w'omukono gwange, naye omugaati omutukuvu gwe guliwo; kyokka abalenzi oba nga beekuumye obutakwata ku bakazi.