1 Samuel 21:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona n'ayanukula Dawudi n'amugamba nti: “Sirinaawo kati migaati gya bulijjo, wabula emigaati emitukuvu; kasita basajja bo baba nga tebeeriraanyizza bakazi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’amugamba nti, “Abakazi tebabeera naffe, era bulijjo bwe kitera okuba bwe tugenda ku mulimu. Emibiri gy’abasajja giba mitukuvu ne bwe baba ku ŋŋendo eza bulijjo. Kale obanga tutera okwekuuma, olowooza leero emibiri gyabwe tegisinga nnyo kuba mitukuvu?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'addamu kabona nti, “Mazima tetusemberedde mukazi okumala ennaku ssatu okuva lwe n'avaayo. Basajja bange baba batukuvu ne bwe tuba ku lugendo olwa bulijjo. Kati tebasingawo, nga tuli ku lugendo olw'enjawulo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'addamu kabona nti: “Mazima tetusemberedde mukazi okumala ennaku ssatu okuva lwe navaayo. Basajja bange baba batukuvu ne bwe tuba ku lugendo olwa bulijjo. Kati tebasingawo, nga tuli ku lugendo olwenjawulo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'addamu kabona n'amugamba nti Mazima twaziyizibwa okuba n'abakazi ennaku nga ssatu; bwe nnavaayo, ebintu by'abalenzi byali bitukuvu, newakubadde nga lugendo bugendo; kale leero ebintu byabwe tebirisinga nnyo kuba bitukuvu?