1 Samuel 21:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'ayanukula kabona nti: “Kituufu, abakazi baakuumiddwa wala ne we tuli, era nga bwe kibadde n'okutuusa kati buli lwe ŋŋenda okutabaala. Emibiri gy'abasajja bange bulijjo giba mitukuvu, newandibadde ku ŋŋendo eza bulijjo; leero alabisa kati; emibiri gyabwe mitukuvu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabona n’amuwa emigaati egyatukuzibwa kubanga tewaaliwo migaati mirala wabula emigaati egy’Okulaga egyaggibwanga mu maaso ga Mukama, buli lunaku nga giwoze, egibuguma ne gissibwawo mu kifo kya gyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona n'amuwa emigaati emitukuvu; kubanga tewaaliwo mugaati mulala, okuggyako emigaati egy'okulaga, egyaggibwanga mu maaso ga Mukama, okussaawo emigaati egibuguma ku lunaku giri lwe gyaggirwangawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabona n'awa Dawudi emigaati emitukuvu, kubanga tewaaliwo migaati mirala okuggyako egyo egyali giweereddwayo eri Katonda, egyaggyibwanga mu maaso ga Mukama, era ku lunaku lwe baagiggyangawo, ne bateekawo emirala egyakafumbibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabona n'amuwa emigaati emitukuvu: kubanga teyaliiyo mugaati wabula emigaati egy'okulaga, egyaggibwanga mu maaso ga Mukama, okussaawo emigaati egibuguma ku lunaku kwe gyaggirwawo.