1 Samuel 21:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona n'amuwa emigaati emitukuvu, engeri gye wataali migaati mirala, wabula Emigaati egy'Okwolesebwa egyali giggyiddwa mu maaso g'Omukama, mu kifo kyagyo ne wateekebwawo emisu ku olwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo omu ku baweereza ba Sawulo eyayitibwanga Dowegi Omwedomu, era nga ye mukulu w’abasumba ba Sawulo, yali asigadde mu maaso ga Mukama okutukuzibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwo, waaliwo omu ku baweereza ba Sawulo, eyalina ekimusigazizza mu maaso ga Mukama. Erinnya lye yali Dowegi Omwedomu era omukulu w'abasumba ba Sawulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo, waaliwo omu ku baweereza ba Sawulo, eyalina ekimusigazizza mu maaso ga Mukama. Erinnya lye yali Dowegi, Omwedomu era omukulu w'abasumba ba Sawulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuntu ow'oku baddu ba Sawulo yaliyo ku lunaku olwo, ng'aziyizibwa mu maaso ga Mukama; n'erinnya lye yali Dowegi Omwedomu, omukulu w'abasumba ba Sawulo.