1 Samuel 21:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo waaliwo omusajja omu ku baweereza ba Sawulo, eyali asibiddwa mu maaso g'Omukama ku olwo, erinnya lye Dowegi Omwedomu, omukulu w'abalunzi ba Sawulo bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’abuuza Akimereki nti, “Tolinaawo ffumu newaakubadde ekitala awo? Ssaayise na kitala kyange newaakubadde ekyokulwanyisa n’ekimu, kubanga omulimu kabaka gwe yantumye gwabadde gwa kukolerawo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'agamba Akimereki nti, “Tolinawo wano ffumu oba ekitala? Kubanga saaleeta kitala kyange newakubadde eby'okulwanyisa byange, kubanga omulimu gwa kabaka gwali gwa mangu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agamba Ahimeleki nti: “Tolinaawo wano ffumu, wadde ekitala? Sireese kitala, wadde ebyokulwanyisa ebirala, kubanga kabaka ky'antumye kibadde kya mangu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agamba Akimereki nti Era tewali wano ffumu newakubadde ekitala wansi w'omukono gwo? kubanga saaleeta wamu mange kitala kyange newakubadde ebyokulwanyisa byange, kubanga omulimu gwa kabaka gwali gwa kwanguwa.