1 Samuel 21:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba Akimeleki nti: “Olinawo wano effumu oba ekitala? Kubanga ekitala kyange n'ebyokulwanyisa byange sazze nabyo; kabaka yantumye bya mangu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona n’amuddamu nti, “Ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti gwe wattira mu kiwonvu Era, weekiri wano; kisabikiddwa mu lugoye emabega w’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. Bw’oba ng’okyetaaga, kitwale. Tewaliwo kitala kirala wabula ekyo.” Dawudi n’ayogera nti, “Tewali kikyenkana; kimpe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabona n'ayogera nti, “Ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti gwe wattira mu kiwonvu Era, kyekiriwo, kiri mabega we kkanzu nga kizingiddwa mu kiwero; oba oyagala twala ekyo kubanga tewali kirala.” Dawudi n'addamu nti, “Tewali kikyenkana ekyo; kimpe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona n'agamba nti: “Ekitala kya Goliyaati Omufilistiya, gwe wattira mu kiwonvu Ela, kye kiriwo. Kiri mabega wa efodi, kizingiddwa mu lugoye. Oba oyagala okutwala ekyo, kitwale, kubanga tewali kirala, okuggyako ekyo.” Dawudi n'agamba nti: “Tewali kikyenkana ekyo; kimpe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabona n'ayogera nti Ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti gwe wattira mu kiwonvu Era, laba, kiri wano nga kizingiddwa mu kiwero ennyuma w'ekkanzu: oba oyagala okutwala ekyo, kitwale; kubanga tewali kirala wano wabula ekyo. Dawudi n'ayogera nti Tewali kikyenkana ekyo; kimpe.