1 Samuel 22:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi yavaayo, n'addukira mu mpuku y'e Adullamu; baganda be bwe baakiwulira, n'ennyumba ya kitaawe yonna, ne baserengetayo gye yali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’ava e Gaasi, n’addukira mu mpuku Adulamu. Baganda be n’ennyumba ya kitaawe bwe baakiwulira nti ali eyo, ne baserengeta okumusisinkana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'avaayo, n'addukira mu mpuku ya Adulamu; awo baganda be n'ennyumba ya kitaawe yonna bwe bawulira nga ali eyo ne bagenda gy'ali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'ava mu kibuga ky'e Gaati, n'addukira mu mpuku, eri okumpi n'akabuga Adullamu. Baganda be n'ab'omu nnyumba ya kitaawe bonna bwe baawulira nti Dawudi ali eyo, ne bagenda gy'ali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi kyeyava avaayo, n'adduka n'atuuka ku mpuku ya Adulamu: awo baganda be n'ennyumba ya kitaawe yonna bwe baakiwulira, ne baserengeta ne bagendayo gy'ali.