1 Samuel 22:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'atumya Akimeleki kabona, mutabani wa Akitubu n'ennyumba yonna eya kitaawe, abaali bakabona e Nobu; bonna ne bajja eri kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’atumya kabona Akimereki mutabani wa Akitubu n’ennyumba ya kitaawe yonna, bakabona abaali e Nobu, bonna ne bajja eri kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'alyoka atuumya Akimereki kitaawe ne bakabona, mutabani wa Akitubu, n'ennyumba yonna eya kitaawe, bakabona abaali e Nobu; ne bajja bonna eri kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'atumya Ahimeleki kabona mutabani wa Ahituubu, n'ab'ennyumba ya kitaawe bonna, abaali bakabona e Nobu, bonna ne bajja eri kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'alyoka atuma okuyita Akimereki kabona, mutabani wa Akitubu, n'ennyumba yonna eya kitaawe: bakabona abaali e Nobu ne bajja bonna eri kabaka.