1 Samuel 22:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'amugamba nti: “Lwaki mwanneekobera, ggwe ne mutabani wa Yesse, n'omuwa omugaati n'ekitala n'omubuuliza n'ewa Katonda, anjeemere era anteegenga nga bw'akola leero?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo n’amubuuza nti, “Lwaki weekobaana ne mutabani wa Yese, n’omuwa emigaati n’ekitala, n’omubuuliza n’eri Katonda, alyoke, anteege angolokokereko, nga bw’akoze leero?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'amugamba nti, “Mwanneekobaanira ki ggwe ne mutabani wa Yese, kubanga wamuwa emigaati n'ekitala, n'omubuuliza neri Katonda, ankyukire okunteega nga bwakoze leero?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'amubuuza nti: “Lwaki ggwe ne mutabani wa Yesse mwandyamu olukwe? Wamuwa emmere n'ekitala, n'omwebuuliza ku Katonda, ankyukire okunteega, nga bw'akoze leero.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo n'amugamba nti Mwanneekobaanira ki, ggwe ne mutabani wa Yese, kubanga wamuwa emigaati n'ekitala; n'omubuuliza eri Katonda, angolokokereko, okuteega nga leero?