1 Samuel 22:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akimeleki n'ayanukula kabaka nti: “Mu baweereza bo bonna ani ayenkana Dawudi mu bwesigwa, mukoddomi wa kabaka, omukulu w'abakuumi bo, ow'ekitiibwa mu nnyumba yo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Akimereki n’addamu kabaka nti, “Ani ku baddu bo bonna eyenkana Dawudi, mukoddomi wa kabaka, omuduumizi wo ow’oku ntikko aduumira ekibinja ekikukuuma, era assibwamu ennyo ekitiibwa mu nnyumba yo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Akimereki n'addamu kabaka n'ayogera nti, “Era ani ku baddu bo bonna eyenkana Dawudi obwesigwa? Ye mukoddomi wo, era ye muduumizi ow'ekibinja ky'abakuumi bo era ow'ekitiibwa mu lubiri lwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ahimeleki n'addamu kabaka nti: “Mu baweereza bo bonna, ani mwesigwa nga Dawudi? Mukoddomi wo, muduumizi w'ekibinja ky'abakuumi bo, era oweekitiibwa mu lubiri lwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Akimereki n'addamu kabaka n'ayogera nti Era ani ku baddu bo bonna amwenkana Dawudi obwesigwa, ye mukoddomi wa kabaka, era ayingizibwa mu kuteesa kwo era ow'ekitiibwa mu nnyumba yo?