1 Samuel 22:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo lwe nasooka okumubuuliza ewa Katonda? Kikafuuwe! Kabaka aleme kuteerera muweereza we n'ennyumba yonna eya kitange kintu kyenkana awo; omuweereza talina ky'amanyi ku byonna ebiriwo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olowooza nti ku lunaku olwo gwe gwali omulundi ogusooka okumubuuliza eri Katonda? Nedda! Kabaka aleme okuvunaana omuweereza wo newaakubadde omuntu yenna ow’omu nnyumba ya kitange, kubanga omuweereza wo talina n’ekimu ky’amanyi ku nsonga eyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nsoose leero okumubuuliza eri Katonda? Kiddire eri! kabaka aleme okussaako omuddu we ekigambo kyonna, newakubadde ennyumba ya kitange yonna; kubanga omuddu wo taliiko ky'amanyi ku bino byonna, newakubadde ebitono newakubadde ebingi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Guno gwe mulundi gwange ogusoose okumwebuuliza ku Katonda? Nedda, si bwe kiri. Naye eky'okukulyamu olukwe ayi kabaka, oleme kukirowooleza nze omuweereza wo, oba omulala yenna ow'omu nnyumba ya kitange, kubanga nze omuweereza wo, sirina kye nkimanyiiko n'akatono.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nsoose leero okumubuuliza eri Katonda? kiddire eri: kabaka aleme okussaako omuddu we ekigambo kyonna, newakubadde ennyumba ya kitange yonna: kubanga omuddu wo taliiko ky'amanyi ku bino byonna, newakubadde ebitono newakubadde ebingi.