1 Samuel 22:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'agamba abakuumi abaali bayimiridde awo w'ali nti: “Mukyuke, mutte bakabona b'Omukama, kubanga beetabye ne Dawudi; baamanya ng'adduse, ne batammanyisa.” Naye abaweereza ba kabaka ne batayagala kugololera bakabona ba Mukama mukono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’alagira abaserikale abaali bamuyimiridde okumpi, nti, “Mutte bakabona ba Mukama, kubanga nabo bassa kimu ne Dawudi. Baategeera ng’adduka, naye ne batantegeeza.” Naye ne wataba n’omu ku baserikale ba kabaka eyayaŋŋanga okugolola omukono gwe okutta bakabona ba Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'agamba abambowa abaali bayimiridde okumwetooloola nti, “Mukyuke mutte bakabona ba Mukama; kubanga n'omukono gwabwe guli ne Dawudi, era kubanga baamanya nga yadduka, ne batakimbikkulira.” Naye abaddu ba kabaka ne bagaana okussaawo omukono gwabwe okugwa ku bakabona ba Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'alagira abakuumi abaali bayimiridde w'ali nti: “Mukyuke mutte bakabona ba Mukama, kubanga nabo beegasse ne Dawudi, era kubanga baamanya ng'adduse ne batambuulira!” Naye abakuumi ba kabaka ne bagaana okugolola emikono gyabwe okutta bakabona ba Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'agamba abambowa abaali bayimiridde okumwetooloola nti Mukyuke mutte bakabona ba Mukama; kubanga n'omukono gwabwe guli ne Dawudi, era kubanga baamanya nga yadduka, ne batakimbikkulira. Naye abaddu ba kabaka ne bagaana okussaawo omukono gwabwe okugwa ku bakabona ba Mukama.