1 Samuel 22:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'agamba Dowegi nti: “Ggwe kyuka otte bakabona.” Dowegi Omwedomu n'akyuka n'akuba bakabona; ku olwo n'atta abasajja kinaana mu bataano abambadde efodi eya kitaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’alyoka alagira Dowegi nti, “Ggwe bakkeeko obatte.” Awo Dowegi Omwedomu n’abakkako n’abatta, era olunaku olwo n’atta abasajja kinaana mu bataano abaayambalanga ekkanzu ey’obwakabona eza bafuta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'agamba Dowegi nti, “Kyuka otte bakabona.” Awo Dowegi Omwedomu n'akyuka n'atta ku lunaku olwo bakabona kinaana mu bataano (85), abaayambalanga ekkanzu eza bafuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'agamba Dowegi nti: “Ggwe kyuka otte bakabona.” Dowegi Omwedomu n'akyuka n'atta bakabona. Ku lunaku olwo n'atta bakabona kinaana mu bataano, abambala efodi ey'olugoye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'agamba Dowegi nti Kyuka ggwe obagweko bakabona. Awo Dowegi Omwedomu n'akyuka n'agwa ku bakabona, n'atta ku lunaku olwo abantu kinaana mu bataano abaayambalanga ekkanzu eya bafuta.