1 Samuel 22:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Nobu, ekibuga kya bakabona, n'akisaanyaawo n'obwogi bw'ekitala; n'atta n'obwogi bw'ekitala buli ky'alimu: abasajja, abakazi, abaana, amabujje, ente, endogoyi n'endiga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atta n’ekitala abatuuze bonna ab’e Nobu, abasajja, n’abakazi, n’abaana abatoototo, n’abaana abawere, era n’ente, n’endogoyi, n’endiga ebyali mu kibuga kya bakabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'alagira okutta abasajja n'abakazi, abaana abato n'abayonka, ente, endogoyi n'endiga eby'omu kibuga kya bakabona ekya Nobu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo era n'azinda Nobu, ekibuga kya bakabona. N'atta abasajja n'abakazi, n'abaana abakuzeemu n'abayonka, era n'ente, n'endogoyi, n'endiga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Nobu, ekibuga kya bakabona, n'akitta n'obwogi bw'ekitala, abasajja era n'abakazi, abaana abato n'abayonka, n'ente n'endogoyi n'endiga, n'obwogi bw'ekitala.