1 Samuel 22:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna abaali mu nnaku na bonna abaalina amabanja na bonna abaalina ennyiike ku mutima ne bamukuŋŋaanirako gy'ali, ye n'aba mukulembeze waabwe; abasajja abaali naye nga bawera ng'ebikumi bina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abo bonna abaali abanaku, n’abaalina abababanja, n’abaali beetamiddwa, nga si bamativu, ne bakuŋŋaanira gy’ali, n’afuuka omukulembeze waabwe; abantu ng’ebikumi bina abaali naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo buli muntu eyali alaba ennaku na buli muntu eyalina ebbanja na buli eyalina obuyinike, ne bagenda gy'ali; n'afuuka omukulembeze waabwe, bonna abammwe gattako ne bawera abasajja nga bina (400).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abaali banyigirizibwa, n'abaali babanjibwa era n'abataali bamativu, ne bagenda ne beegatta ku Dawudi, n'afuuka omukulembeze waabwe. Bonna abaamwegattako ne bawera abasajja ng'ebikumi bina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo buli muntu eyali alaba ennaku na buli muntu eyalina ebbanja na buli eyalina obuyinike, ne bakuŋŋaana gy'ali; n'afuuka omukulu waabwe: awo ne waba naye abasajja nga bikumi bina.