1 Samuel 22:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sigala nange, totya; anoonya obulamu bwo, y'anoonya n'obwange; tojja kubeera na kabi we ndi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sigala nange, totya, kubanga omusajja anoonya obulamu bwo anoonya n’obwange. Ojja kuba bulungi ng’oli wamu nange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe beera nange, totya; kubanga oyo anoonya obulamu bwange anoonya obulamu bwo; naye ggwe beera nange ojja kuba mirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sigala nange, totya, kubanga oyo ayagala okunzita, naawe ye ayagala okukutta. Bw'onooba nange ojja kukuumibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe beera nange, totya; kubanga oyo anoonya obulamu bwange anoonya obulamu bwo: kubanga awali nze onoobanga mirembe.