1 Samuel 22:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'avaayo, n'agenda mu Mizupa mu Mowabu, n'agamba kabaka w'e Mowabu nti: “Nkwegayiridde, Kitange ne mmange basigale nammwe okutuusa lwe nnaamanya Katonda ky'anankolera.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’avaayo n’agenda e Mizupe mu Mowaabu, n’agamba kabaka wa Mowaabu nti, “Nkusaba okkirize kitange ne mmange babeere naawe okutuusa bwe ndimanya Katonda ky’ayagala okunkolera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'avaayo n'agenda e Mizupe ekya Mowaabu; n'agamba kabaka wa Mowaabu nti, “Kiriza kitange ne mmange babeere naawe, okutuusa lwe ndimanya Katonda by'alinkolera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'avaayo, n'agenda e Mizupa eky'omu Mowaabu, n'agamba kabaka w'e Mowaabu nti: “Kkiriza kitange ne mmange bajje babeere naawe, okutuusa nga mmaze okumanya Katonda ky'agenda okunkolera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'avaayo n'agenda e Mizupa ekya Mowaabu: n'agamba kabaka wa Mowaabu nti Kitange ne mmange bafulume babe nammwe, okutuusa lwe ndimanya Katonda by'alinkolera.