1 Samuel 22:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abaleka ne kabaka w'e Mowabu, ne basigala naye ennaku zonna Dawudi ze yamala mu bwekwekero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abaleka ne kabaka wa Mowaabu, ne babeera naye ebbanga lyonna Dawudi lye yabeera mu kifo ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'abaleeta eri kabaka wa Mowaabu; ne babeera naye ekiseera kyonna Dawudi kyeyamala ng'ali mu mpuku.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'aleeta bakadde be ewa kabaka w'e Mowaabu, ne babeera naye ebbanga lyonna Dawudi lye yamala nga yeekwese mu mpuku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'abaleeta mu maaso ga kabaka wa Mowaabu: ne batuula naye ekiseera kyonna Dawudi ng'akyali mu mpuku.