1 Samuel 22:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulanzi Gaadi n'agamba Dawudi nti: “Leka kusigala mu bwekwekero. Genda mu nsi ya Yuda.” Dawudi n'avaayo, n'ajja mu kibira ky'e Kereti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nnabbi Gaadi n’alabula Dawudi nti, “Tobeera mu kifo ekyo, vaamu ogende mu nsi ya Yuda.” Awo Dawudi n’avaayo n’agenda mu kibira Keresi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo nnabbi Gaadi n'agamba Dawudi nti, “Tobeera mu mpuku; vaamu ogende mu nsi ya Yuda.” Awo Dawudi n'agenda n'abeera mu kibira e Keresi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omulanzi Gaadi n'agamba Dawudi nti: “Tobeera mu mpuku, vvaamu ogende e Buyudaaya.” Awo Dawudi n'avaayo, n'agenda mu kibira ky'e Hereti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo nnabbi Gaadi n'agamba Dawudi nti Tobeera mu mpuku; genda, otuuke mu nsi ya Yuda. Awo Dawudi n'agenda n'atuuka mu kibira Keresi.