1 Samuel 22:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'awulira nga Dawudi n'abasajja abaali naye bazuuse. Sawulo yali Gibewa ng'atudde wansi w'omumyulira oguli ku kasozi k'e Gibewa, ng'akutte effumu, abakungu be bonna nga bamwetoolodde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo n’awulira nti Dawudi n’abasajja be bazuuliddwa. Sawulo yali atudde wansi w’omumyulimu ku kasozi e Gibea ng’akutte effumu, nga n’abaserikale be bayimiridde okumwetooloola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo n'awulira nga Dawudi n'abasajja abaali naye baazuuliddwa. Sawulo yali atudde wansi w'omumyuliru mu Gibeya eky'omu Laama, ng'akutte effumu lye mu ngalo, n'abaddu be bonna nga bayimiridde okumwetooloola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Sawulo bwe yali e Gibeya, ng'atudde wansi w'omuti omunyulira ku kasozi, ng'akutte effumu mu ngalo, nga ne basajja be bamwetoolodde, n'awulira nga Dawudi n'abasajja be yali nabo, bazuuliddwa gye bali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sawulo n'awulira nga Dawudi alabise n'abasajja abaali naye: era Sawulo yali atudde e Gibeya, munda w'omumyuliru mu Laama, ng'akutte effumu lye mu ngalo, n'abaddu be bonna baali bayimiridde okumwetooloola.