1 Samuel 22:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'agamba abakungu be abaali naye nti: “Muwulire, Ababenyamiini, nammwe mwenna, mutabani wa Yesse alibawa mwenna ebibanja n'ennimiro z'emizabbibu? Alibafuula bagabe b'enkumi n'ebikumi?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo n’abagamba nti, “Mumpulirize mmwe Ababenyamini. Mutabani wa Yese alibawa ennimiro n’ennimiro ez’emizabbibu? Mulowooza alibafuula abaduumizi b’enkumi n’abaduumizi b’ekikumi?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'agamba abaddu be abaali bayimiridde okumwetooloola nti, “Muwulire nno, mmwe Ababenyamini; mutabani wa Yese aliwa buli omu ku mmwe ennimiro n'ensuku ez'emizabbibu, n'abafuula abakulu mu maggye abakulira ebibinja by'enkumi oba;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'agamba abaweereza be abaali bayimiridde okumwetooloola nti: “Muwulire mmwe Ababenyamiini! Mulowooza nti mutabani wa Yesse aliwa buli omu ku mmwe ebibanja n'ennimiro z'emizabbibu, mwenna n'abafuula bakulu mu magye ge, okukulira ebibinja eby'olukumi lukumi, n'eby'ekikumi kikumi?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo n'agamba abaddu be abaali bayimiridde okumwetooloola nti Muwulire nno, mmwe Ababenyamini; mutabani wa Yese aliwa buli muntu ku mmwe ennimiro n'ensuku ez'emizabbibu, alibafuula mwenna okuba abaami b'enkumi era abaami b'ebikumi;