1 Samuel 22:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwaki mwenna munneekobedde? Tewali yambuulira nti mutabani wange yatta omukago ne mutabani wa Yesse; mu mmwe tewali annumirwa, wadde okumbuulira nti mutabani wange yajeemesa omuweereza wange anteegenga nga bw'akola olwa leero.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyemuvudde mundyamu olukwe mwenna? Tewali n’omu ku mmwe eyantegeeza mutabani wange ng’akola endagaano ne mutabani wa Yese. Tewali n’omu ku mmwe afaayo okuntegeeza nga mutabani wange awagira omuweereza wange okunteega, nga bw’akoze leero.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kyemuvudde mwekobaana ne mundyamu olukwe, ne wataba n'omu antegezaako nga mutabani wange bw'eyalagaana endagaano ne mutabani wa Yese; tewali n'omu ku mmwe ansaasidde wadde antegeeza nti mutabani wange yapikiriza omuweereza wange okuteega nga bwakoze leero!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyemuvudde mundyamu olukwe? Tewali n'omu ku mmwe yambuulirako, nti mutabani wange, akoze endagaano ne mutabani wa Yesse! Tewali n'omu ku mmwe annumirwa, wadde antegeeza nga mutabani wange, ye apikiriza omuweereza wange okunteega, nga bw'akoze leero!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mwenna ne muneekobaana, so tewali ambikkulira mutabani wange bw'alagaana endagaano ne mutabani wa Yese, so tewali ku mmwe ansaasidde, newakubadde antegeeza nga mutabani wange yampererera omuddu wange okuteega nga leero?