1 Samuel 22:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dowegi Omwedomu, eyali awamu n'abakungu ba Sawulo, n'ayanukula nti: “Nalaba mutabani wa Yesse mu Nobu ewa Akimeleki mutabani wa Akitubu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Dowegi Omwedomu eyali ayimiridde awamu n’abaserikale ba Sawulo n’ayogera nti, “Nalaba mutabani wa Yese ng’agenda eri Akimereki mutabani wa Akitubu e Nobu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dowegi Omwedomu eyali ayimiridde awali abaddu ba Sawulo, n'alyoka addamu n'ayogera nti, “Nnalaba mutabani wa Yese nga azze e Nobu, eri Akimereki mutabani wa Akituubu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dowegi Omwedomu, eyali ayimiridde awo n'abaweereza ba Sawulo, n'addamu nti: “Nalaba mutabani wa Yesse ng'ajja e Nobu eri Ahimeleki mutabani wa Ahituubu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dowegi Omwedomu, eyayimirira awali abaddu ba Sawulo, n'alyoka addamu n'ayogera nti Nalaba mutabani wa Yese ng'ajja e Nobu, eri Akimereki mutabani wa Akitubu.