1 Samuel 23:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne babuulira Dawudi nti: “Baabali Abafilisitiini balumbye Keyila, banyagulula buli gguuliro.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi bwe yategeezebwa nti, “Laba, Abafirisuuti balwana ne Keyira, era banyagulula amawuuliro,”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne babuulira Dawudi nti, “Abafirisuuti balwanyisa abe Keyira era banyaga amawuuliro.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi ne bamubuulira nti Abafilistiya balumbye ekibuga ky'e Keyila, era banyaga n'emmere eyaakakungulwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne babuulira Dawudi nti Laba, Abafirisuuti balwana ne Keyira, era banyaga amawuuliro.