1 Samuel 23:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abantu b'e Keyila banampaayo mu mikono gye? Ddala Sawulo anaaserengeta eno, ng'omuweereza wo bw'awulidde? Ayi Mukama Katonda wa Yisirayeli, omuweereza wo mutegeeze.” Omukama n'agamba nti: “Ajja kuserengeta.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abatuuze b’e Keyira balimpaayo gy’ali? Era Sawulo anaaserengeta n’ajja, ng’omuweereza wo bw’awulidde? Ayi Mukama, Katonda wa Isirayiri, nkwegayiridde, tegeeza omuweereza wo.” Mukama n’amugamba nti, “Aliserengeta.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja ab'e Keyira balimpaayo mu mukono gwe? Sawulo aliserengeta, ng'omuddu wo bw'awulidde? Ayi Mukama, Katonda wa Isiraeri, nkwegayiridde, buulira omuddu wo.” Mukama n'ayogera nti, “Aliserengeta.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ab'e Keyila banampaayo mu mikono gya Sawulo? Ddala Sawulo anaaserengeta nga nze omuweereza wo bwe mpulidde? Ayi Mukama Katonda wa Yisirayeli, nkwegayiridde mbuulira, nze omuweereza wo.” Mukama n'addamu Dawudi nti: “Sawulo ajja kuserengeta.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ab'e Keyira balimpaayo mu mukono gwe? Sawulo aliserengeta, ng'omuddu wo bw'awulidde? Ai Mukama, Katonda wa Isiraeri, nkwegayiridde, buulira omuddu wo. Mukama n'ayogera nti Aliserengeta.