1 Samuel 23:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'addamu okubuuza nti: “Abantu b'e Keyila banampaayo nze ne basajja bange mu mikono gya Sawulo?” Omukama n'agamba nti: “Banaakuwaayo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’addamu n’abuuza nti, “Abasajja b’e Keyira balimpaayo nze n’abasajja bange eri Sawulo?” Mukama n’amuddamu nti, “Balibawaayo gy’ali.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'alyoka n'abuuza nti, “Abasajja ab'e Keyira balimpaayo nze n'abasajja bange mu mukono gwa Sawulo?” Mukama n'addamu nti, “Balikuwaayo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'abuuza nti: “Abatuuze b'e Keyila banampaayo ne basajja bange mu mikono gya Sawulo?” Mukama n'addamu nti: “Bajja kukuwaayo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'alyoka ayogera nti Abasajja ab'e Keyira balimpaayo nze n'abasajja bange mu mukono gwa Sawulo? Mukama n'ayogera nti Balikuwaayo.