1 Samuel 23:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Dawudi n'asituka n'abasajja be abawera nga lukaaga ne bava mu Keyila, ne babungeetanga nga bava wano badda wali. Sawulo bwe yategeezebwa nti Dawudi adduse mu Keyila, naye eby'okugendayo n'abisazaamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’abasajja be, abawera nga lukaaga ne bava e Keyira, ne batambulatambulanga wano ne wali nga tebalina kifo kyankalakkalira. Sawulo bwe yategeezebwa nga Dawudi adduse okuva mu Keyira, n’atagendayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'abasajja be, abaali nga lukaaga (600) ne badduka ne basaasaana. Ne babuulira Sawulo nti Dawudi adduse okuva e Keyira: Sawulo eby'okulumba ekibuga naabivako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi ne basajja be abawera nga lukaaga, ne basituka ne bava e Keyila, ne bagenda buli gye bayinza okugenda. Sawulo bwe yawulira nti Dawudi adduse okuva e Keyila eby'okulumba ekibuga n'abivaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'abasajja be, abaali nga lukaaga ne bagolokoka ne bagenda okuva mu Keyira ne bagenda buli gye bayinza okugenda. Ne babuulira Sawulo Dawudi ng'awonye okuva mu Keyira: n'alekayo okutabaala.