1 Samuel 23:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi bwe yali mu ddungu ly'e Zifu mu Koresi, n'amanya nti Sawulo avuddeyo okunoonya obulamu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi ng’ali mu ddungu ery’e Zifu mu kibira ky’e Kolesi, n’ategeera nga Sawulo amunoonya okumutta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi naamanya nga Sawulo amunoonya okumutta, mu kiseera ekyo Dawudi yali yeekwese mu ddungu lye Zifu mu lukoola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'alaba nga Sawulo yali amunoonya okumutta. Olwo, Dawudi yali mu kibira, mu ddungu ly'e Zifu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'alaba nga Sawulo atabadde okunoonya obulamu bwe: era Dawudi yali mu ddungu ery'e Zifu mu kibira.