1 Samuel 23:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yonatani mutabani wa Sawulo n'asituka n'alaga eri Dawudi mu Koresi, n'amuyamba okuzuula endasi mu Katonda; n'amugamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yonasaani mutabani wa Sawulo n’agenda eri Dawudi mu kibira, Kolesi, okumugumya mu Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yonasaani mutabani wa Sawulo n'asituka n'agenda Dawudi gye yali, mu lukoola, n'amugumya nti, Katonda taaleme kumukuuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yonataani mutabani wa Sawulo, n'asituka n'agenda Dawudi gye yali, n'amugumya nti Katonda taaleme kumukuuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yonasaani mutabani wa Sawulo n'agolokoka, n'agenda eri Dawudi mu kibira, n'anyweza omukono gwe mu Katonda.