1 Samuel 23:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Leka kutya, kitange Sawulo tajja kukukola kabi; ggwe ojja kubeera kabaka wa Yisirayeli; nze nzija kubeera akuddirira, ne kitange Sawulo ekyo akimanyi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amugamba nti, “Totya, kubanga kitange Sawulo talikukola kabi n’akamu. Gwe oliba kabaka wa Isirayiri, nze ne mbeera omumyuka wo, era n’ekyo kitange akimanyi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amugamba nti, “Totya, Sawulo kitange tajja kusobola kukukolako kabi. Gwe oliba kabaka wa Isiraeri, nze nenkuddirira mu bukulu; ekyo ne Sawulo kitange akimanyi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'amugamba nti: “Totya, Sawulo kitange tajja kusobola kukukolako kabi. Era ggwe ojja okuba kabaka wa Yisirayeli, nze nkuddirire mu kitiibwa. Ekyo ne Sawulo kitange akimanyi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Totya; kubanga omukono gwa Sawulo kitange tegulikulaba; era gw'oliba kabaka wa Isiraeri nange ndikuddirira obukulu; era n'ekyo Sawulo kitange akimanyi,