1 Samuel 23:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bombi ne bakola endagaano mu maaso g'Omukama. Dawudi n'asigala mu Koresi, Yonatani ye n'addayo ewaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bombi ne bakola endagaano mu maaso ga Mukama, n’oluvannyuma Yonasaani n’addayo ewuwe, Dawudi n’asigala mu kibira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abo bombi ne balagaanira endagaano mu maaso ga Mukama; Dawudi n'abeera mu lukoola, Yonasaani n'addayo mu nnyumba ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bombi ne bakola endagaano mu maaso ga Mukama. Dawudi n'asigala mu kibira, Yonataani n'addayo ewuwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abo bombi ne balagaanira endagaano mu maaso ga Mukama: Dawudi n'abeera mu kibira, Yonasaani n'addayo mu nnyumba ye.