1 Samuel 23:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno, ayi kabaka, wonna w'oba oyagalidde, serengeta; ogw'okumuwaayo mu mikono gya kabaka ogwo gwaffe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano, ayi kabaka, serengeta mu bbanga lyonna ly’onoosiima, tujja kumuwaayo gy’oli.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno kaakano ayi kabaka nga bwoyagala ennyo okumukwata, jjangu ffe tujja kumuwaayo gy'oli.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano ayi kabaka nga bw'oyagala ennyo okumukwata, jjangu, ffe tujja kumuwaayo mu mikono gyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno kaakano, ai kabaka, serengeta, ng'emmeeme yo yonna bw'eyagala okuserengeta; naffe okumuwaayo mu mukono gwa kabaka kuliba kwaffe.